Romans 10

1Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. 2 aKubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. 3 bMu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. 4 cKristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.

5 dMusa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” 6 eNaye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) 7newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” 8 fAbo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. 9 gBw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 hKubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 iTewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 jBuli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 kEra balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” 16 lNaye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” 17 mNoolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo. 18 nNaye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna,
n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”
19 oAbayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo:

“Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga,
ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”
20 pNe Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti,

“Nazuulibwa abo abatannoonya,
ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”
21 qNaye eri Isirayiri agamba nti,

“Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange
eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”
Copyright information for LugEEEE